Batutunze Lyrics – Ziza Bafana

Batutunze bageziwadde nnyo
Ensi yo bagitunze my God
Nkaaba mununge
Nkaaba ng’eno ensolo ku ttale eno ennunge
Namunungu ezzaawo
Mukama ensi bagitunze
Gye watonda abantu mwattu byo abitunze
Bangi batutunze tebalaba naye batutunze
Nkaaba nga nno mpunze
Nkaabira kimu ensi yange bagitunze
Emigabo gyo bagitunze
Tufugibwa balina ennimi zaabwe ezo bagirunze
Beerabidde eby’obuwangwa
Ennimi zaabwe eggwanga lyabwe balitunze
Maama gye tulaga enzikiza ekutte maama, dada
Musomesa biki abaana bammwe?
Nammwe kyemulaga ekyo enkya
Abaana bammwe kye balaba
Muvude mu byammwe eby’okwefuga
Eby’okulya bye mweyiggira
Mugenze n’ebyabi bye mwasoma
Muwoza article nnema
Mulwadde n’ebilwadde candida
Mubitegedde mutya mmwe bannabirya?

My God kati tuyambe
Emitima gyabwe gizimbadde
Bbugubbugu gubatambadde
Beyambudde
Bambadde
Emisege
Nga gyambade
Eddiba ly’engo nga gitulumbye
Ente zo bazitwala Mukama anunge
Taasa abaana bo babalumbye
Eby’obugagga bwabwe babitunze
Ensozi, gold n’amazzi

Tusula bubi eno gye tusula
Tuzingiddwaako mu nsi yaffe ne tusula
Hmm tusiibirira ntula, nyaanya n’ebisula
Oluusi tetulya oluusi mwana wattu tusula
Mukama Katonda Gguluddene mwattu eyatutonda
Nkaabira ggwe nga sinnata Mukama n’anunda
Noonya bye nnina ebyo ebintunda byensunga
N’abange bye mbawa ebyo baabizunga
Baabipinga baagala biri eby’abaginga
Baagala biri ebyabali abajapanitunga
Abatukolera emmundu ezitutunda
N’ebiso ebyo ebitutunga
Abatulaga entalo n’okwagala abo abakukufunga
Abaggyawo okwagalana n’okusuubira
Essuubi omala batunda
Kaakati obasendasenda bagendere ku kye batunda

Bandigaba n’empeke abaana b’abatunda
Bazaala baana b’emitwe anti baatutunda
Obasanga banjula nga basaba n’enguuna
Babasala biguuna bawunze abaana bampenga
Baabo bano benda ku bali
Bano benda ku bali ono yakoze biri
Emikisa bagisibye bakutte abagoberezi ba sitaani
Abakutte amaaso laba luli
Amasimu gaabwe go tegawummula
Banzibira wala bwentyo bandaba

Oli akutte muwala we
Atudde ku muganda we
Laba ono atudde ku aunt we
Cousin, Sister bonna bali ku bbaawe
Aah mu kuzaala bakaaba
Omuliro gubumbujja nga gwokya
Abakola batyo empeera baagakaaba
Baagakaabanga
Betulugunyanga
Ebirungi bwe batyo baabisuulanga
Baalinnya wansi ettabaaza baagizikiza
Kakati bali mu nzikiza
Bakaaba kibakutte ekizikiza
Ekitangaala abazungu bakitutte
Nga batukaabya boogera luzungu batutunze
Maama we ne taata we nabo abatunze
Abeeganye ensi ye ng’agitunze
Maaama maama
Yeah
Oh oooh oh
Temunkaabya
Bannayuganda
Ensi yo bagitunze

Submit Corrections

Please follow and like us:
 20

Leave a Comment