Taata W’omuntu Lyrics by Nince Henry

Toggle navigation
UGLyrics
Search
Nince Henry
Taata W’omuntu Share Add Photo

Verse 1

Kati kanjogere nange ekyange kyanuma obweda
Kanyimbeyo nange oluyimba lwe batalyelabira
Gwe wazalibwa wafuna emikwano ku nsi
Olusi watuka n’okula wazaala n’abaana era obimanyi
Abawaana abalungi bamwe byemuwaana mbeera mbiwulira
Naye waliyo omuntu omu ku nsi
Abasinga gwe mubuusa amaaso
Yeyasima ekinya n’asiga
Yeyafukilira era yeyalandiza
Nga buli kimu kitunula mwoyo
Nga n’enkuba lwekuba ekub’oyo

Chorus

Ngamba taata wo gwe sssebo
Yakwagala nyo nyo ssebo
Era mu bulamu bwona ssebo
Taata mwebaze
Siima taata wo gwe ssebo
Omwagale nyo nyo ssebo
Kuba mu bulamu ku nsi
Taata w’omuntu

Verse 2

Omubiri n’omutima gwona
Amanyi ge n’amagezi ku nsi
Yabiweerayo gwe kinuma okulaba nga ate omusosola
Omuntu eyakazananga
Nga gyabeera wabayo mubiri gwoka
Nga buli kyalowooza n’omutima gwe bili waka ku bantu be
Nze simanyi nabuamu bwebubaNga bwenkwata esimu yange
Ne mukubilako takyakwaata oba nga taliwo
Omukwano omungi daddy gwalina
Era bye bilungi kati byolina
Yeyanoonyanga buli kikumi nakuwa
Ogende osome…
Omukwano omungi mummie gwomuwa
Era gwegumu naye gwoba omuwa
Bameka bolaba mukama nabawa ne bazaala abalenzi

Nolwekyo…..

Chorus

Osiimanga taata wo gwe ssebo
Yakwagala nyo nyo ssebo (yakwagala nyo nyo)
Era mu bulamu bwona ssebo
Taata mwebaze
Siima taata wo gwe ssebo
Omwagale nyo nyo yakwagala naye
Kuba mu bulamu ku nsi
Taata w’omuntu

Verse 3

Gw’omuntu eyakeeranga
Nagenda nanyonyeza abantu be (obulamu)
Nga newamala wabeerawo alwade omusajja teyebaka (Taata wo gwe)
Ebizibu ekyenda ku kikumi yabyetika oyo gwolaba (musajja watu)
Mubugubi nga n’olusi lwezibuze tasobola kubewala (musajja watu)
Ye muntu eyakeeranga
Nagenda nayiyiza abantu be (obulamu)
Nga newamala wabeerawo alwade omusajja teyebaka (Taata wo gwe)
Ebizibu ekyenda ku kikumi yabyetika oyo gwolaba (musajja watu)
Enaku eluma nga ssebo zabuze
Okomewo bukomi obagambeki
Tewabeera kyakuwoza nadala (Ng’olina abaana)
Omukwano omungi mummie gwomuwa
Era gwegumu naye gwoba omuwa
Bameka bolaba mukama nabawa ne bazaala abalenzi
Banange omukwano omungi mummie gwakuwa
Era gwegumu ne daddy gwakuwa
Bameka bolaba mukama nabawa Ouh ouh

Chorus

Osiimanga taata wo gwe ssebo
Yakwagala nyo nyo ssebo (yakwagala nyo nyo)
Era mu bulamu bwona ssebo
Taata mwebazeSiima taata wo gwe ssebo
Omwagale nyo nyo yakwagala naye
Kuba mu bulamu ku nsi
Taata w’omuntu
Osiimanga taata wo gwe ssebo
Yakwagala nyo nyo ssebo (yakwagala nyo nyo)
Era mu bulamu bwona ssebo
Taata mwebazeSiima taata wo gwe…

Please follow and like us:
 20

Leave a Comment