Walumbe Zaaya lyrics – Paul Kafeero

Walumbe zzaaya atukola bw’ati, Bak’abasajja b’otugumbula otyo
Laba bw’olekawo ab’emitwe emiyaaye, Oli wa ngeri ki atamanyi bateefu?

Onkutulidde ne ggita nsula nkuyimba, Komaniina ogira okubulwa w’osula
Oli mubbi nnyo mundeke mulangire, Ate tunaayogera ng’abali e bukoddomi?
N’owulira enduulu n’emiranga maama, N’abagagga abasikambula mu mabenzi

Laba obwamulekwa bwe bwefuze Obuganda
Lwattima olutulesa amabujje!
Ne lufuukuuza n’abali ebuziizi!
Ne lulindiggula n’abali mu bire eyo
Lwa ndasi lulya n’abali e Bulaaya, Omutemu awenja ne munda z’abakyala
N’akuunyuulayo n’obuyonka maama, Ate takuba mmiisi n’obuto abugaaya!
Nkugambye luzibu tulya nalwo eka, Ne mu bifo ebisanyukirwa luli eyo kyema
Luli mu nguuli gye twesenserera eyo..! Kale luzibu olwetiba atamidde

Chorus
Kitalo nnyo kitalo yaaya yaaye, kitalo kitalo baana batu
Kitalo nnyo kitalo yaye yaye, kitalo kitalo baana batu
Kitalo kitalo woowe woowe, kitalo kitalo baana batu kitalo

Kyokka ggete ggete sebbo Walumbe, Nze luntunuza ng’atali musajja
Ggwe atalina ggita wa gy’olaza abayimbi? B’osomba obuliza awatali siteegi?
Aba legi n’abakassanova? N’abakadongokamu n’otugattika otyo?
Ssebo gy’otutwala nga teri butuulo, Emagombe wala eyo etava kalungi
Mu bonna be watwala mpaawo alidda, Bali mu bibululu etava ddoboozi
Eyo mu nzikiza ewatali tawaaza, Nange Paulo gye ndaga ewala eyo
Eyo mu ttambiro lyo eyo awabunye entiisa, Era we waabulira n’owuwo omulungi
Ky’ova ondaba nkuba ggita ngayaala, Na byonna bye nkola tebimpa maanyi
Bannange essaawa y’okufa eriko ebibuuzo, Ate ne byanukulwa bityo engeri engayaavu Ky’ekitawankanya nange eyalya amabanja, Ebirinjogerwako awatali kuwuuna.
Bwentyo ne newunika ne mba ng’omukyaawe. Ani alinjulira ndiba nziyidde!

Repeat Chorus

Lusika abanene ababunye ebitiibwa! Ne lukkalira nga lubuukira abalungi
Ab’emibiri egy’eyiwaayiwa abo, Ssebo bonna terubatiisa maaso
Lubawereba puleesa ne alusa oyo, Ne basindogoma n’olutya lusajja
Ne luyingirira n’amaka amalungi, Ne luleka ebifulukwa ndifa ndulojja
Eyo ewajjanjabirwa, eno ensi yafa dda, Abalala lubazingirako waka eyo.
Lwa ttima olutwenyaza mu baana, N’ofuuka ekyenyinyalwa bw’otyo, Leero n’ofa ng’oweddemu omuwendo, Kw’ogatta n’obulumi obw’ekika ekiboofu, Lugaba n’emitima egy’ekinyanya mwattu Bantu bannaffe be tunyumya nabo abo, Oli n’akusanjaga awatali kutyamu, N’atakubyamu ngeri gy’onolekamu amabujje.

Oluusi omuntu ng’oyo abeera n’ababe eka Ggwe ababo ne baba ng’abatali baana! Abagumba ab’emitwe abo bantama nze Abatusuza twaziirana mu miranga!

Repeat Chorus

Labayo ab’ensusu abato abatiini, Basinduka baweddemu omucuuzi
Abalungi n’ababi bonna abagasse, Njagala ndabe ku lulimi lwa Walumbe.
Olwo olugattika ebikaawa n’ebiwooma Olaba Mabiriizi lwamulya ngayadde,
Ndowooza lwanniimisa ntamidde, Munnange omutto eyali amanyi okuyimba
Ate nga nange lummanyi eddoboozi Kale kyenva nnumira mu byentera okuyimba.
Tulabye n’obulumi obutagenda kuggwa, Kino kitalo nnyo kitalo baana battu.

Afazaali singa abazaawa badda, Ne batubulira bw’efaanana ewala eyo.
Abalenzi abaali ab’ebitiibwa, Bonna lwabayuza amasuuti.
Luulwo ne mu baana by’abagagga, Lukonjobola ng’olusa obuwunga.
Lwandasi lulya n’amanyi oluzungu, Teruliiko musomi na mukafiiri.
Eyo ennyanja lwagimalamu obukejje, Naye ate nze aweramu gguleevi !

Repeat Chorus

Labayo obwama bwe bwefuze abateefu, Beekengereza zzisa busolo oyo.
Twegeya tuli ku mabbali awo, Baka banene nze mbatya okubaasa,
Kyokka bw’olowooza okufa nga weenyazeenyaze, Ng’okufa bwe liri tteeka n’oyoya ekikutuko.
Mpaawo n’asobola kwawula mu nfa ye, Wabula twekanga lumaze okutuuka.
Buli omu n’engeri ye ne bw’eba ya kikangabwa, Mpaawo musanvu gy’oguteeka maama,
Nnyazaala wange ye singa amusonyiwa, Anzaalira omukuumaka omulungi.

Owange mpa oluguuli nywe ndabe ggwe, Abawoza kiki agunywa engeri eyo?
Olwo nnywe peetulooli nze atali mmotoka? Oba mu mmotoka mwe baba bayiwa enguuli?
Nze siwubwangako kuva ku ndeku awo nedda
Oyo anneenyinyala angobanga ewuwe eka Omwenge gwe gutuga abafa ebikutuko
Oba gwe gutirimbula obuva ku mabeere? Ye ggwe atagunya olifa otya nkubuuza?

Leka nno bajje bakukube ogubundu Olyoke omanye bwe tutudde mu giraasi
Anti ziizino zafuuka miggo buggo.
Eno ensi okujamuka n’entaayi tesala! Nze ndeka ne mmiima ndifa ntamidde.
Luno lulya n’obukazi obutanaaba maaso. Lwamalako terweganya bicaafu

Repeat Chorus

Lufumbiikiriza abaakola entegeka, Bwe lubasanga mu makubo tebadda waabwe
Kati ku mpya ludibizaayo abalungi Ne wabula anyega luli olutyanga.

Labayo ennaku bwe yeefuze abasajja, Okuyita mu makubo ng’abatalina maaso.
Luno lutwepankiddeko nkugambye, Okufulula abamanyi Oluganda.
Ebirungi lubitulesaawo, Naye kale Mukama bw’atyo.
Ne lusattulula abafumbo abalungi, Omwagalwa wo n’aserengeta ewala eyo.
N’osigala ku bwassemwandu bw’otyo, Ofunda n’obwaluli naye ate obwa luno.
Ne lusiikuula abateesa obulungi, N’olaba amatemu bwe gayitingana awo.

Obugumba n’obuwuulu bw’atya ggwe, By’ebyesibye mu mayumba g’abasajja.
Luwalampye n’e Makerere mu bagunjufu, ddiguli luzibalesa mitwetwe!
Kyokka ayi Mukama olina obusungu, Okutuliyisa essango eritazzibbwa ffe.
Jjajja w’olulyo eyasobya gy’oli, Ggwe wandibonerezza n’ogwo omuggo.
Naye ffe kaakano tulinga baana, Abatamanyi ebyaliwo mu kusooka.
Singa lulya nguzi awo kyandibadde yadde, Nange nandipakasizza ne ngulirira.

Labayo ezaali entumbwe z’abalungi, Ziringa minyolo gya namunjoloba.
Ggwe tolaba enkompe mw’atunulira kati, Abo bonna baali bantu ba muwendo.
Ab’embuto ezibooleka ebisente, Basongodde lwabaganzika eyo.
Kye twalya twandikizzizza gye kyava, Okusinga okuziraga tutyo!

Ye ne bwe nawoloma emiti okukyuka, Mpaawo kirikyukako yalabbi.
Mbasiibudde nsaasira abalwadde, Mukama waffe abangumize bambi.
Ne nsaasira n’abali ku lukuusi, Ddunda abawe ekiwummulo ekirungi.
Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja, Luzibu nnyo lukambwe baana battu!!!!

Please follow and like us:
 20

One thought on “Walumbe Zaaya lyrics – Paul Kafeero

Leave a Comment